Genesis 18:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'ayongera nti: “Nkwegayiridde Mukama wange tonsunguwalira bwe nnyongera okusaba. Kitya nga wasangiddwayo makumi asatu gokka?” N'ayanukula nti: “Bwe wanaasangibwayo amakumi asatu gokka, sijja kukolawo kantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’agamba nti, “Kale nno Mukama aleme okunsunguwalira, nange nnaayogera. Singa musangibwamu amakumi asatu.” N’addamu nti, “Sijja kukizikiriza singa musangibwamu amakumi asatu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti, “Nkwegayiridde, Mukama tonsunguwalira, kanjogere nate, singa munaalabikamu asatu (30)?” Mukama n'addamu nti, “Siikole bwe ntyo bwe nnaalabamu asatu (30).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Afugabyonna, tosunguwala, era ka njogere. Oboolyawo munaasangibwamu amakumi asatu.” N'addamu nti: “Siikizikirize bwe munaasangibwamu amakumi asatu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Nkwegayiridde, Mukama tasunguwala, nange kanjogere: mpozzi munaalabikamu asatu. N'ayogera nti Sirikola bwe ntyo, bwe nnaalabayo asatu.