Genesis 18:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'addamu nate nti: “Ŋŋumye njogere eri Mukama wange. Bwe wanaasangibwayo amakumi abiri gokka?” N'amuddamu nti: “Olw'okubeera amakumi abiri, sijja kuzikiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nti, “Laba ŋŋumye ne njogera ne Mukama. Singa musangibwamu amakumi abiri.” N’agamba nti, “Ku lw’amakumi abiri sijja kukizikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'agamba nti, “ Nsonyiwa okwetantala okwogera naawe nate, Afuga byonna. Singa munaasangibwamu abiri (20).” Mukama n'addamu nti, “Sijja kukizikiriza olw'abo abiri (20).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'agamba nti: “Nsonyiwa okuguma okwogera naawe, Afugabyonna. Oboolyawo munaasangibwamu amakumi abiri.” Mukama n'addamu nti: “Sijja kukizikiriza olw'abo amakumi abiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama: mpozzi munaalabikamu abiri. N'ayogera nti Sirikizikiriza, ku bw'abiri abo.