Genesis 18:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Mukama wange tonsunguwalira bwe nnaayongerayo kiryose omulundi omulala gumu. Bwe banaasangibwayo ekkumi lyokka?” N'agamba nti: “Olw'okubeera ekkumi eryo, sijja kuzikiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’agamba nti, “Kale Mukama aleme okukwatibwa obusungu, nnaayongera okwogera, naye luno lwokka. Singa kkumi lye linaasangibwamu.” N’addamu nti, “Ku lw’abo ekkumi sijja kukizikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'agamba nti, “Tonsunguwalira, kanjogere nate omulundi guno gwokka. Singa munaalabikamu ekkumi (10).” N'addamu nti, “ Sijja kukizikiriza olw'abo ekkumi (10).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Afugabyonna, tosunguwala, era ka njogere nate omulundi gumu gwokka. Oboolyawo munaasangibwamu kkumi.” N'addamu nti: “Sijja kukizikiriza olw'abo ekkumi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Nkwegayiridde, Mukama tasunguwala, nange ka njogere nate omulundi guno ogumu gwokka: mpozzi munaalabikamu ekkumi. N'ayogera nti Sirikizikiriza ku bw'ekkumi abo.