Genesis 18:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ka ndeeteyo ku kagaati, muddemu ku ndasi, olwo kale mweyongereyo, manyanga kyemuvudde mukyama ew'omuweereza wammwe.” Bo ne bagamba nti: “Kola nga bw'oyogedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe ndeeta omugaati mulyeko muddemu amaanyi, mulyoke mugende, anti muzze eri muddu wammwe.” Ne bamugamba nti, “Kola nga bw’ogambye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nange nga bwe ndeeta akamere, mulyeko, muddemu amaanyi; kubanga mutuuse mu nnyumba y'omuddu wammwe.” Ne boogera nti, “Kola bw'otyo, nga bw'oyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga nange bwe ndeeta akookulya muddemu amaanyi, mulyoke mugende, kubanga we muzze wa muweereza wammwe.” Ne bagamba nti: “Kola bw'otyo nga bw'oyogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange naaleeta akamere, musanyuke emitima gyammwe; ne mulyoka mugenda: kubanga mutuuse eri omuddu wammwe. Ne boogera nti Kola bw'otyo, nga bw'oyogedde.