Genesis 18:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'agenda bunnambiro eri Saara mu weema n'amugamba nti: “Yanguwa, goya seeya ssatu ez'obuwunga bw'eŋŋano, ovumbike n'obugaati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'ayanguwa n'ayingira mu weema eri Saala n'ayogera nti, “Teekateeka mangu ebigero bisatu eby'obutta obugoye, ofumbe emmere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'ayanguwa n'ayingira mu weema, n'agamba Saara nti: “Teekateeka mangu ku buwunga obusinga obulungi, obugoye, ofumbe emmere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'ayanguwa n'ayingira mu weema eri Saala n'ayogera nti Teekateeka mangu ebigero bisatu eby'obutta, obugoye, ofumbe emmere.