Genesis 18:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agenda mangu mu ggana n'aggyayo akayana akagonvu ennyama, akalungi, n'akawa omulenzi; n'omulenzi n'ayanguwa mangu okukateekateeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu n’agenda bunnambiro mu kisibo n’aggyamu ennyana, ento era ennungi n’agiwa omu ku bavubuka eyayanguwa okugifumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'adduka mbiro n'agenda mu kiraalo, n'alondamu ennyana eŋŋonvu ennungi, n'agiwa omuddu we agitte agifumbe mangu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Aburahamu n'adduka n'ayingira mu ggana, n'alondamu ennyana ennyirivu era ensava, n'agikwasa omuweereza, eyagitta n'agifumba mangu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'adduka mbiro eri ekisibo, n'akima ennyana eŋŋonvu ennungi, n'agiwa omuddu; n'ayanguwa okugifumba.