Genesis 18:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'addira omuzigo n'amata n'akayana, ke yali afumbye, n'abibassa mu maaso, ye n'ayimirira kumpi awo ku bbali wansi w'omuti bo nga balya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’addira omuzigo n’amata n’ennyana eyafumbibwa n’abiteeka mu maaso gaabwe; n’ayimirira we baali, wansi w’omuti nga balya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'addira omuzigo, n'amata, n'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso gaabwe; n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'addira omuzigo n'amata n'ennyama y'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso g'abasajja abasatu, ye n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addira omuzigo, n'amata, n'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso gaabwe; n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya.