Genesis 19:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akawungeezi bamalayika ababiri ne batuuka e Sodoma. Loti yali atudde ku wankaaki w'ekibuga. Bwe yabalaba, n'ayimuka n'agenda okubasisinkana, n'avunnama ku maaso ge ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bamalayika ababiri ne batuuka mu Sodomu akawungeezi; Lutti yali atudde mu mulyango gwa Sodomu. Lutti bwe yabalaba n’agolokoka okubasisinkana, n’avuunama,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bamalayika ababiri bwe batuuka e Sodoma akawungeezi; Lutti yali atudde ku mulyango awayingirirwa mu kibuga Sodoma. Lutti n'abalaba, n'asituka okubasisinkana; n'avuunama mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bamalayika ababiri bwe baatuuka e Sodoma akawungeezi, Looti yali atudde ku mulyango gwa Sodoma. Looti bwe yabalaba, n'asituka okubasisinkana. N'avuunama ku ttaka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Bamalayika babiri ne batuuka e Sodomu akawungeezi; ne Lutti yali atudde mu mulyango ogw'e Sodoma: Lutti n'abalaba, n'agolokoka okubasisinkana; n'avuunama amaaso ge