Genesis 19:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate bali abaali ebweru ne babaziba amaaso okuva ku muto okutuuka ku mukulu, eby'okuzuula omulyango ne babivaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baziba amaaso g’abasajja abaali ebweru ku luggi lw’ennyumba, abato n’abakulu, ne bakoowa nga bawammanta oluggi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baziba amaaso g'abasajja abato n'abakulu abaali ebweru ku luggi, ne bawamanta, ne balemwa okuzuula oluggi we luli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baziba amaaso g'abasajja bonna abaali ebweru, ne balemwa okuzuula oluggi we luli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bazibya amaaso g'abasajja abaali ku luggi, abato era n'abakulu: n'okwekooya ne beekooya nga banoonya oluggi.