Genesis 19:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ne bagamba Loti nti: “Wano olinawo omuntu yenna owuwo? Bakoddomi bo, batabani bo, bawala bo, oba omulala yenna owuwo ali mu kibuga? Muggye mu kifo kino,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ne babuuza Lutti nti, “Olinayo wano abantu abalala? Mukoddomi wo, n'abaana bo, ab'obulenzi n'ab'obuwala, ne bonna b'olina mu kibuga; baggye mu kifo kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja ababiri ne bagamba Looti nti: “Bw'oba ng'olina wano abantu bo abalala, abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, bakoddomi bo, n'abalala bonna b'olina mu kibuga, baggye mu kifo kino,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ne bagamba Lutti nti Olina nate wano abalala? mukoddomi wo, n'abaana bo, ab'obulenzi n'ab'obuwala, ne bonna b'olina mu kibuga; bafulumye mu kifo muno: