Genesis 19:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga tugenda okukizikiriza, anti emiranga gyabwe eri Omukama egyemulugunyiza abalimu minene, kyavudde atusindika, tukizikirize.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga tuli kumpi okukizikiriza. Kubanga okukaaba olw’abantu baamu eri Mukama kuyitiridde, era Mukama atutumye okukizikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama atutumye okuzikiriza ekifo kino, kubanga awulidde okwemulugunya kw'abantu, olw'obubi obungi obukirimu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga tugenda kuzikiriza ekifo kino. Mukama awulidde okwemulugunyiza abantu bano, n'atutuma okuzikiriza Sodoma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tunaazikiriza ekifo kino, kubanga okukaaba kwabwe kweyongedde nnyo mu maaso ga Mukama; era Mukama yatutumye okukizikiriza.