Genesis 19:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Loti n'afuluma, n'abuulira bakoddomi be abaali ab'okuwasa bawala be, n'agamba nti: “Mwanguwe, muve mu kifo kino, kubanga Omukama agenda okuzikiriza ekibuga.” Bo ne balowooza nti asaaga busaazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Lutti n’afuluma n’ategeeza bakoddomi be abaali ab’okuwasa bawala be ng’agamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga Mukama ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ng’abalaata eri bakoddomi be. Lutti n’ab’ennyumba ye ne badduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lutti n'afuluma n'ayogera n'abasajja abaali bagenda okuwasa bawala be, n'abagamba nti, “Mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama agenda kuzikiriza ekibuga.” Naye bo ne batafaayo nga balowooza nti asaaga busaazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Looti n'agenda eri abasajja abaali bagenda okuwasa bawala be, n'abagamba nti: “Musituke mangu, muve mu kifo kino, kubanga Mukama agenda okuzikiriza ekibuga.” Naye bo ne balowooza nti yali asaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lutti n'afuluma n'ayogera ne bakoddomi be, abaawasa abawala be, n'agamba nti Mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama anaazikiriza ekibuga. Naye yaliŋŋanga asaaga eri bakoddomi be.