Genesis 19:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmambya ng'asala bamalayika ne bamusindirira nti: “Situka, twala mukazi wo, ne bawala bo ababiri b'olina wano, sikulwa ng'osaanawo ng'ekibuga kibonerezebwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obudde bwe bwali bunaatera okukya, bamalayika ne balagira Lutti nga bagamba nti, “Golokoka, otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali wano muleme okuzikirira ng’ekibuga kibonerezebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bapapya Lutti, nga boogera nti, “situka, otwale mukazi wo, n'abaana bo abawala bombi abali wano; oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw'ekibuga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bwakya enkya, bamalayika ne bakubiriza Looti ayanguwe, nga bagamba nti: “Situka otwale mukazi wo, ne bawala bo bombi abali wano, oleme okuzikirizibwa awamu n'ekibuga eky'aboonoonyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bamwanguyiriza Lutti, nga boogera nti Golokoka, otwale mukazi wo, n'abaana bo abawala bombi abali wano: oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw'ekibuga.