Genesis 19:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akyesisiggiriza, abasajja ne bamukwata omukono, n'omukono gwa mukazi we n'egya bawala be bombi ne babafulumya, ne babateeka ebweru w'ekibuga, kubanga Omukama yali abakwatiddwa ekisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yali akyekunya, abasajja ne bamukwata omukono, n’emikono gya mukazi we, n’emikono gy’abawala be bombi, Mukama ng’abakwatirwa ekisa, ne babafulumya ne babateeka ebweru w’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Lutti bwe yeekunya; Mukama n'amusaasira, abasajja ne balyoka bakwata ku mukono gwa Lutti, ne mukazi we, ne bawala be bombi, ne babafulumya ebweru w'ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Looti n'alwa. Kyokka Mukama olw'okumusaasira, abasajja ne bakwata ku mukono Looti ne mukazi we, ne bawala be bombi, ne babatwala ebweru w'ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n’alwa; abasajja ne bamukwata ku mukono gwe, ne ku mukono gwa mukazi we, ne ku mukono gw'abaana be abawala bombi; Mukama ng'atusaasira: ne bamuggyamu, ne bamuleeta ebweru w'ekibuga.