Genesis 19:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwabatuusa ebweru w'ekibuga, omu n'amugamba nti: “Dduka, owonye obulamu bwo. Totunula mabega wadde okuyimirira awalala wonna mu museetwe; ddukira mu lusozi, sikulwa ng'osaanawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baabafulumya ne babagamba nti, “Mudduke muwonye obulamu bwammwe, temutunula mabega wadde okuyimirira mu kiwonvu; muddukire ku nsozi, muleme okuzikirizibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, omu ku basajja n'abagamba nti, “Mudduke muleme okufa; temutunula mabega, era temulwa mu lusenyi lwonna; muddukire ku lusozi, muleme okuzikirizibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bamala okubaggyiramu ddala, omu ku bamalayika n'agamba nti: “Mudduke, muleme okufa. Temutunula mabega, era temulwa mu lusenyi. Muddukire ku lusozi, muleme okuzikirizibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, n'ayogera nti Dduka oleme okufa; totunula nnyuma wo, so tolwa mu lusenyi lwonna; ddukira ku lusozi, oleme okuzikirizibwa.