Genesis 19:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Bakama bange, mbeegayiridde, mukyame ew'omuweereza wammwe, musule wano; munaabe ku bigere, awo enkya muyinza okukeera ne mwongera olugendo lwammwe.” Ne bagaana nti: “Nedda, ekiro tunaakimala mu mbuga y'ekibuga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agamba nti, “Bakama bange mukyame mu nnyumba y’omuddu wammwe munaabe ku bigere, mbegayiridde n’okusula musule. Munaazuukuka mangu ku makya ne mukwata ekkubo lyammwe.” Ne bagamba nti, “Nedda tunaasula mu luguudo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Bakama bange, mbeegayiridde mukyame, muyingire ew'omuddu wammwe, munaabe ku bigere era musule. Bwe bunaakya ku makya mulyoke mugende.” Ne baddamu nti, “Nedda, tugenda kusula ku luguudo mu kibuga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti: “Bakama bange, mbeegayiridde mukyame, muyingire omwange nze omuweereza wammwe, munaabe ku bigere era musule. Bwe bunaakya enkya, mukeere mugende.” Bo ne bagamba nti: “Nedda, tujja kusula wano ku luguudo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Laba nno, bakama bange, mwekooloobye, mbegayiridde, mu nnyumba ey'omuddu wammwe, musule okukeesa obudde, munaabe ebigere, mukeere enkya okugolokoka, mwegendere. Ne boogera nti Nedda; naye tunaasula mu luguudo okukeesa obudde.