Genesis 19:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yanguwa owonere eyo, kubanga sijja kubaako kye nkola okutuusa ng'okatuuseemu.” Akabuga ako kyekaava kayitibwa Zowari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yanguwa tolwa, ddukira eyo; kubanga siriiko kye nnaakola nga tonnatuuka eyo.” Erinnya ly’ekibuga kyeryava liba Zowaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye yanguwako, oddukire omwo; kubanga sijja kukola kintu kyonna nga tonnatuukamu.” Akabuga ako ne katuumibwa erinnya Zowaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yanguwako oddukire omwo, kubanga siyinza kubaako kye nkola nga tonnakituukamu.” Ekibuga ekyo Looti kye yayita ekitono, kyekyava kituumibwa erinnya Zowari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yanguwako, oddukire omwo; kubanga siyinza kukola kigambo, nga tonnatuuka omwo. Erinnya ly'ekibuga kyeryava liyitibwa Zowaali.