Genesis 19:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'atyo n'azikiriza ebibuga bino n'omuseetwe gwonna, abantu b'omu bibuga bonna, n'ebimera by'omu nsi eyo byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’azikiriza ebibuga ebyo, n’ekiwonvu kyonna n’abantu bonna abaali mu bibuga, ne buli kintu ekyalimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alyoka azikiriza ebibuga ebyo byombi, n'olusenyi lwonna, n'abantu bonna abaabirimu, n'ebimera byonna ebyali ku ttaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'azikiriza ebibuga ebyo, n'olusenyi lwonna, awamu n'abantu bonna abaali mu bibuga ebyo, era n'ebimera byonna ku ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'asuula ebibuga ebyo, n'olusenyi lwonna, n'abo bonna abaatuulanga mu bibuga, n'ebyo ebyamera ku ttaka.