Genesis 19:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abasindirira nnyo, ne bakyama ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye. N'abafumbira emmere; yafumba omugaati ogutazimbulukuse, ne balya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’abawaliriza nnyo; awo ne bakyama ne bajja gy’ali ne bayingira mu nnyumba ye, n’abategekera ekijjulo n’emigaati egitali mizimbulukuse ne balya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abeegayirira nnyo, ne bakkiriza ne bakyama ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye; n'abafumbira embaga, nga kuliko emigaati egitazimbulukusiddwa, ne balya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okubawaliriza ennyo, ne bagenda naye ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye. N'abafumbira embaga, nga kuliko emigaati egitazimbulukusiddwa, ne balya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abawaliriza nnyo; ne beekooloobya ewuwe, ne bayingira mu nyumba ye; n'abafumbira embaga, n'ayokya omugaati ogutazimbulukuswa, ne, balya.