Genesis 19:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Loti n'ava e Zowari ne bawala be ababiri n'ayambuka n'asenga mu nsozi; yali atidde okusigala mu Zowari. N'akola amaka ge mu mpuku, ye ne bawala be ababiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Lutti n’ava mu Zowaali, n’abeera mu nsozi wamu ne bawala be, kubanga yatya okubeera mu Zowaali. Ye ne bawala be ne babeera mu mpuku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lutti yatya okubeera mu Zowaali, kyeyava ayambuka ku lusozi n'abeeranga mu mpuku ne bawala be bombi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Looti yatya okusigala mu Zowari, kyeyava ayambuka ku lusozi, n'abeeranga mu mpuku wamu ne bawala be bombi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lutti n'alinnya n'ava mu Zowaali, n'atuula ku lusozi, n'abaana be abawala bombi naye; kubanga n'atya okutuula mu Zowaali: n'atuula mu mpuku, n'abaana be abawala bombi.