Genesis 19:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu omuwala omukulu n'agamba muto we nti: “Kitaffe akaddiye, ate mu nsi temuli musajja n'omu eyandisobodde okutuwasa ng'empisa bw'eri mu nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku lumu omuwala omukulu n’agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye era tewali na musajja ku nsi ajja kutwagala ng’empisa y’ensi bw’eri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku lumu, omuwala omubereberye n'agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye, so tewali musajja mu nsi eno wa kutuwasa ng'empisa y'ensi yonna bw'eri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwala omukulu n'agamba omuto nti: “Kitaffe akaddiye, ate tewali musajja mu nsi eno wa kutuwasa ng'empisa y'ensi yonna bw'eri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omubereberye n'agamba omuto nti Kitaffe akaddiye, so tewali musajja mu nsi aliyingira gye tuli ng'empisa y'ensi zonna bw'eri: