Genesis 19:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiro ekyo ne batamiiza kitaabwe omwenge, omuwala omukulu n'ayingira ne yeebaka ne kitaawe. Loti teyawulira muwala we yeebakira ne we yazuukukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omukulu n’agenda ne yeebaka ne kitaawe, Lutti n’atamanya bwe yeebaka yadde bwe yagolokoka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omubereberye n'ayingira, n'eyegatta ne kitaawe; kyokka kitaabwe yali atamidde nnyo n'atakimanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekiro ekyo, ne banywesa kitaabwe omwenge, omuwala omukulu n'ayingira ne yeegatta naye. Kyokka kitaabwe yali atamidde nnyo, n'atakimanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omubereberye n'ayingira, n'asula ne kitaawe; n'atamanya bwe yagalamira, newakubadde bwe yagolokoka.