Genesis 19:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ku lunaku olwaddirira, omukulu n'agamba muto we nti: “Nze jjo ekiro neebaka ne kitange, ne mu kiro kino era tumunywese evviini, ggwe ojja kuyingira weebake naye, tukuume ezzadde nga tuyita mu kitaffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwaddirira, omuwala omukulu n’agamba omuto nti, “Laba, ekiro neebase ne kitange; Leka tumunywese omwenge ekiro kino, oyingire gy’ali weebake naye, tulyoke tusobole okukuuma ezzadde mu kitaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwaddako, omubereberye n'agamba omuto nti, “Laba, ekiro n'egasse ne kitange; era tumunywese omwenge n'ekiro kino; naawe oyingire weegatte naye, tukuume ezzadde lya kitaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddako, omuwala omukulu n'agamba omuto nti: “Ekiro nze neebase naye. Era tumunywese omwenge ekiro kino, naawe weebake naye, atuzaalemu abaana, tukuume ezzadde lye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olwaddako, omubereberye n'agamba omuto nti Laba, ekiro nasuze ne kitange: era tumunywese omwenge n'ekiro kino; naawe n'oyingira, n'osula naye, tukuume ezzadde lya kitaffe.