Genesis 19:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ekiro ekyo era ne batamiiza kitaabwe omwenge, omuto n'ayingira okwebaka naye; ne ku olwo teyawulira muwala we we yeebakira ne we yazuukukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omuwala omuto n’asituka ne yeebaka naye, Lutti n’atamanya bwe yeebase ne bw’agolokose.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omuto ne yeegatta naye; era kitaabwe yali atamidde nnyo n'atakimanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekiro ekyo, ne banywesa kitaabwe omwenge, n'omuwala omuto n'agenda ne yeegatta naye. Kitaabwe era yali atamidde nnyo, n'atakimanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne banywesa kitaabwe omwenge n'ekiro ekyo: omuto n'agolokoka, n'asula naye; n'atamanya bwe yagalamira, newakubadde bwe yagolokoka.