Genesis 19:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu n'azaala omwana wa bulenzi n'amutuuma Mowabu; ye kitaabwe w'Abamowabu abaliwo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwala omukulu n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Mowaabu, ye jjajja w’Abamowaabu abaliwo kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubereberye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Moabu; oyo ye jjajja w'Abamoabu ne kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwala omukulu n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Mowaabu. Oyo ye jjajja w'Abamowaabu abaliwo na kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omubereberye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Moabu: oyo ye jjajja w'Abamoabu ne kaakano.