Genesis 19:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'omuto n'azaala omwana wa bulenzi n'amutuuma Benammi; ye kitaabwe w'Abammoni abaliwo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuto naye n’azaala omwana mulenzi n’amutuuma Benami, ye yavaamu Abamoni abaliwo ne kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benami; oyo ye jjajja w'abaana ba Amoni ne kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benammi. Oyo ye jjajja w'Abammoni abaliwo na kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benami: oyo ye jjajja w'abaana ba Amoni ne kaakano.