Genesis 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali tebannagenda kwebaka, abasajja ab'omu kibuga, abasajja ab'e Sodoma, okuva ku muto okutuuka ku mukadde, abantu bonna okutuuka ku asembayo, ne bazinda ennyumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga tebannaba kugenda kwebaka, abasajja ab’omu kibuga, abasajja ba Sodomu, abakulu n’abato, abantu bonna ne beetooloola ennyumba;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ng'abagenyi tebanneebaka abasajja ab'omu kibuga Sodoma, abato n'abakulu abaava mu bifo byonna, ne bazingiza ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ng'abagenyi tebanneebaka, abasajja ab'omu kibuga Sodoma ne bazingiza ennyumba. Abantu bonna abato era n'abakulu ne bava wonna ne bajja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nga tebanneebaka, abasajja ab'omu kibuga, ab'e Sodoma, ne bazingiza ennyumba, abato era n'abakulu, abantu bonna nga bavudde mu bifo byonna: