Genesis 19:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayita Loti ne bamubuuza nti: “Abasajja abaayingidde ewuwo ekiro baluwa? Batufulumize eno twebake nabo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bayita Lutti nga bagamba nti, “Abasajja abazze gy’oli ekiro kino bali ludda wa? Batufulumize twebake nabo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayita Lutti, ne bamubuuza nti, “Abasajja abaayingidde ewuwo ekiro kino bali ludda wa? Bafulumye obatuwe twegatte nabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayita Looti, ne bamubuuza nti: “Abasajja abazze ewuwo ekiro kino bali ludda wa? Bafulumye, obatuwe tubeebakeko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bayita Lutti, ne bamugamba nti Abasajja bali ludda wa abayingidde ewuwo ekiro kino? obafulumye gye tuli, tubamanye.