Genesis 19:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnina wano bawala bange babiri embeerera; ka mbabafulumize mubakole nga bwe mwagala, naye abasajja bano temubaako kye mubakola, kubanga bazze kwewogomako wano mu nnyumba yange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, nnina bawala bange embeerera babiri, ka mbabafulumize, mubakole kye mwagala; naye temubaako kye mukola basajja bano, bagenyi bange era nze mbalabirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba nno, nnina abaana bange abawala babiri embeerera. Ka mbafulumye gye muli, mubakole kye mwagala. Naye temubaako kye mukola ku basajja abo, kubanga bagenyi mu maka gange, nteekwa okubakuuma.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe, nnina bawala bange babiri embeerera. Ka nfulumye abo gye muli, mubakole kye mwagala. Naye temubaako kye mukola ku basajja abo, kubanga bagenyi mu maka gange, nteekwa okubakuuma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba nno, nnina abaana abawala babiri, abatamanyanga musajja; ka mbafulumye labo gye muli, mbeegayiridde, nammwe mubakole nga bwe kiri ekirungi mu maaso gammwe: naye abasajja abo temubakola kigambo; kubanga batuuse wansi w'ekisiikirize eky'akasolya kange.