Genesis 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bali ne bagamba nti: “Ddira muli! Omusajja ono eyajja obugwira kuno y'ayagala okutusalirawo? Kale nno ggwe tujja okubonyaabonya n'okusinga bano.” Ne basindirira nnyo Loti, ne basembera bamenye oluggi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne boogera nti, “Vvaawo, Olusajja luno olwasenga obusenzi kuno, kati lwe lutuwa ebiragiro? Kaakano ggwe tujja ku kukola bubi okusinga abo.” Awo Lutti ne bamunyigiriza nnyo, ne basembera okumenya oluggi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bo ne bagamba nti: “Vvaawo! Olusajja luno olwasenga obusenzi kuno, kati lwe lutuwa ebiragiro? Tujja kukukolako n'obukambwe n'okusinga bali.” Ne banyigiriza nnyo Looti, ne basembera okumenya oluggi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Vaawo. Ne boogera nti Olusajja luno lwayingira okuba omugenyi, naye kirugwanira okuba omulamuzi: kaakano tunakukola ggwe bubi okusinga abo. Ne bamunyigiriza nnyo omusajja, ye Lutti, ne basembera okumenya oluggi.