Genesis 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate erinnya ly'akagga akookusatu ye Tiguri. Ako kalaga ebuvanjuba wa Assuri. Ko akagga akookuna ye Furaati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ogwokusatu nga guyitibwa Kidekeri: ogwo gwe guyita ku mabbali g'e Bwasuli. N'ogwokuna nga guyitibwa Fulaati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugga ogwokusatu ye Tigiriisi, oguyita ebuvanjuba bwa Assiriya. N'omugga ogwokuna ye Ewufuraate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'erinnya ly'omugga ogw'okusatu Kidekeri: ogwo gwe guyita ku mabbali g'e Bwasuli. N'omugga ogw'okuna Fulaati.