Genesis 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda ng'amaze okubumba mu ttaka ebisolo byonna eby'omu nsiko n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga, yabireetera omusajja alabe ky'anaabiyita, buli kiramu kyonna nga bwe yakiyita lye lyafuuka erinnya lyakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda n'addira ettaka n'akolamu buli nsolo ey'omu nsiko, na buli kinnyonyi ekibuuka mu bbanga; n'abireetera omuntu okulaba bw'anaabiyita; n'omuntu buli linnya lye yayita ekitonde kyonna ekiramu eryo lye lyafuuka erinnya lyakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda kyeyava addira ettaka n'akolamu ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga, n'abireetera omuntu okulaba bw'anaabiyita, era buli kiramu, erinnya lye yakiyita, lye lyaba erinnya lyakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda n'akola n'ettaka buli nsolo ey'omu nsiko, na buli ekibuuka waggulu; n'abireetera omuntu, okulaba bw'anaabiyita: n'omuntu buli lye yayita ekitonde kyonna ekiramu eryo lye linnya lyakyo.