Genesis 2:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja n'atuuma amannya ebisolo by'awaka byonna, n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga, n'ebisolo byonna eby'ettale; naye temwasangibwamu muyambi asaanira muntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya. Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu n'atuuma amannya buli nsolo na buli ekibuuka mu bbanga, naye omuntu nga tannalaba mubeezi amusaanira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu n'atuuma amannya buli nsolo na buli ekibuuka mu bbanga, naye nga tannazuula mubeezi amusaanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu n'abituuma amannya buli nsolo n'ekibuuka waggulu na buli nsolo ey'omu nsiko; naye omuntu nga tannalaba mubeezi amusaanira.