Genesis 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja n'agamba nti: “Kati lino lye ggumba ery'omu magumba gange, omubiri oguvudde mu mubiri gwange; ono anaayitibwanga ‘mukazi’ kubanga aggyiddwa mu musajja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja n’agamba nti, “Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu n'ayogera nti, “Otyo! Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange; naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggyiddwa mu musajja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'agamba nti: “Ddala ono ye muntu munnange, lye ggumba erivudde mu magumba gange, gwe mubiri oguvudde mu mubiri gwange. Anaayitibwanga mukazi, kubanga aggyiddwa mu musajja. ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu n'ayogera nti Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja.