Genesis 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'awa omukisa olunaku olwomusanvu, n'alutukuza, kubanga ku olwo yawummula omulimu gwe gwonna ogw'okutonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'awa omukisa olunaku olwomusanvu n'alutukuza, kubanga olwo lwe yawummulirako emirimu gye gyonna gye yakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'awa omukisa olunaku olw'omusanvu, n'alutukuza, kubanga ku lunaku olwo, kwe yamalira okutonda, n'alekera awo okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'awa omukisa olunaku olw'omusanvu n'alutukuza: kubanga olwo lwe yawummuliramu mu mirimu gye gyonna Katonda gye yatonda gye yakola.