Genesis 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
waali tewannabaawo kasaka konna ak'ettale ku nsi wadde ekimera kyonna eky'oku nsiko ekyali kitutunuse; anti Omukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi wadde okubaawo omuntu yenna ow'okulima ettaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
waali tewannamera muti gwonna ogw'omu nsiko wadde omuddo, kubanga Mukama Katonda yali tannaba kutonnyesa nkuba ku nsi; era nga tewali muntu alima ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
waali tewannabaawo miti wadde ebimera ebirala ku nsi, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesaako nkuba, era nga tewali muntu alima ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli muti ogw'omu nsiko nga tegunnaba kubeerawo mu nsi, na buli muddo ogw'omu nsiko nga tegunnaba kumera: kubanga Mukama Katonda yali nga tannaba kutonnyesa nkuba ku nsi, nga tewali muntu alima ensi;