Genesis 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama Katonda n'abumba omuntu mu nfuufu ey'ettaka, n'afuuwa mu mivubo gy'ennyindo ye omukka ogw'obulamu. Omuntu n'afuuka omwoyo omulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda n'abumba omuntu n'enfuufu ey'ensi, n'amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw'obulamu, omuntu n'alyoka abeera omulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama Katonda n'abumba omuntu mu nfuufu y'ettaka, n'amufuuwa mu nnyindo omukka ogw'obulamu, omuntu n'atandika okuba omulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda n'abumba omuntu, n'enfuufu y'ensi, n'amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw'obulamu; omuntu n'afuuka omukka omulamu.