Genesis 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda mu ttaka n'amezaamu buli muti ogusanyusa okulaba nga guwooma n'okulya, mu nnimiro wakati nga mulimu omuti gw'obulamu n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda n'ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya. Wakati mu lusuku mwalimu omuti ogw'obulamu, n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ameza omwo buli muti ogusanyusa okulaba, era ogubala ebibala ebiwooma. Mu nnimiro wakati mwalimu omuti oguleeta obulamu, n'omuti oguleeta okumanya ekirungi n'ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda n'ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso omulungi okulya; n'omuti ogw'obulamu wakati mu lusuku, n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi.