Genesis 20:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'ava eyo n'alaga mu nsi Negevu n'asenga wakati wa Kadesi ne Suru; n'abeerako ekiseera e Gerari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'ava e Mamule n'agenda mu nsi ey'obukiikaddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli. Awo bwe yali ng'ali mu Gerali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Aburahamu n'ava e Mamure, n'alaga mu nsi ey'omu bukiikaddyo, n'abeera wakati wa Kadesi ne Suuri. Bwe yali mu Gerari,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'ava eyo n'atambula okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n'abeera mu Gerali.