Genesis 20:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso era ku ludda olulala kituufu mwannyinaze, mwana wa kitange naye nga si wa nnyabo; namuwasa n'afuuka mukazi wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kyo kituufu, Saala mwannyinaze, kubanga mwana wa kitange so si wa mmange, kyennava muwasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'ekirala, Saara mwannyinaze ddala, mwana wa kitange, naye nga si wa mmange, wabula yafuuka mukazi wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye mazima ye mwanayinaze, mwana wa kitange, naye si mwana wa mmange; n'afuuka mukazi wange: