Genesis 20:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange n'ammunzabunza, ne ŋŋamba Saara nti: ‘Eky'ekisa ky'oyinza okunkolera kwe kunjogerako yonna gye tunaagendanga nti: Ono mwannyinaze.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Eky’ekisa ky’oyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti ndi mwannyoko.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange n'antambuzatambuza mu nsi endala, ne ŋŋamba Saala nti ‘Kino kye ky'ekisa ky'onoonkoleranga. Mu buli kifo mwe tunaatuukanga; ogambanga nti ono mwannyinaze.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange, mbungeeterenga mu nsi engwira, ne ŋŋamba Saara nti: ‘Kino kye ky'ekisa ky'ononkoleranga: mu buli kifo mwe tunaatuukanga, ogambanga nti ono mwannyinaze.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale, Katonda bwe yantambuzatambuza okuva mu nnyumba ya kitange, ne ndyoka mmugamba nti Kino kye kisa kyo ky'ononjolesanga; mu buli kifo mwe tunaatuukanga, oyogeranga ku nze nti Ye mwannyinaze.