Genesis 20:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abimeleki n'addira endiga n'ente n'abiwa Yiburayimu, ko n'abaddu n'abazaana, ate n'amuddiza ne Saara mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abimereki n’atwala endiga n’ente, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi, n’abiwa Ibulayimu, n’amuddiza Saala mukyala we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abimereki n'awa Ibulayimu endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'amuddiza ne Saala mukazi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abimeleki n'awa Aburahamu endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, era n'amuddiza mukazi we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Abimereki n'atwala endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'abiwa Ibulayimu, n'amuddiza Saala mukazi we.