Genesis 20:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Ensi yange ekuli awo mu maaso, senga wonna w'osiima.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Abimereki n’amugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera w’oyagala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abimereki n'agamba Ibulayimu nti, “ Ensi yange yiiyo; tuula wonna w'oyagala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abimeleki n'agamba nti: “Ensi eyange, yonna yiiyo, beera wonna w'oyagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abimereki n'ayogera nti Ensi yange eri mu maaso go: tuula gy'onooyagala.