Genesis 20:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'agamba Saara nti: “Mwannyoko mmuwadde ebitundu bya ffeeza lukumi; eno ye ngassi mu maaso g'abo bonna b'oli nabo ey'ensobi yange ku ggwe. Ggwe wejjeeredde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba Saala nti, “Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi (1,000) ebya ffeeza; nga ke kabonero akakasa bonna b'oli nabo nti tolina musango”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Saara nti: “Laba mpadde mwannyoko ebitundu lukumi ebya ffeeza, nga ke kabonero akakakasa bonna b'oli nabo nti toliiko musango, era nga wejjeeredde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba Saala nti Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi ebya ffeeza: laba, ky'eky'okubikka ku maaso gy'oli eri abo bonna abali naawe; ne mu bigambo byonna ogattiddwa.