Genesis 20:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alimba ku mukazi we Saara nti: “Mwannyinaze.” Abimeleki kabaka w'e Gerari n'atumya Saara, n'amutwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti, “Ye mwannyinaze.” Awo Abimereki kabaka w'e Gerali kwe kutuma bamuleetere Saala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti mukazi we Saara mwannyina. Awo Abimeleki, kabaka w'e Gerari, n'atuma ne bamuleetera Saara.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti Ye mwanayinaze: ne Abimereki kabaka w'e Gerali n'atuma, n'atwala Saala.