Genesis 20:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka Katonda n'alabula Abimeleki ekiro mu kirooto nti: “Ojja kufa olw'omukazi gwe waleese; kubanga muka musajja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda n'ajjira Abimereki ekiro mu kirooto n'amugamba nti, “Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Katonda n'ajjira Abimeleki ekiro mu kirooto, n'amugamba nti: “Laba, ggwe oli mufu wa jjo olw'omukazi gwe watwala, kubanga alina bba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda n'ajjira Abimereki mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba.