Genesis 20:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si ye yagambye nti: ‘Mwannyinaze’? Ne Saara yennyini si ye yaŋŋambye nti: ‘Mwannyinaze’? Kino nakikoze mu mutima mulungi n'emikono egitaliiko musango.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu teyaŋŋamba ye yennyini nti, ‘Ye mwannyinaze?’ Era n'omukazi yennyini n'ayogera nti, ‘Ye mwannyinaze?’ Kye nnakola, nnakikola mu mutima mulungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu yennyini si ye yaŋŋamba nti oyo mwannyina, era n'omukazi yennyini n'agamba nti mwannyina? Ekyo nakikola mu mutima ogutaliimu bukuusa era omulongoofu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teyaŋŋamba ye yennyini nti Ye mwannyinaze? naye omukazi, omukazi yennyini n'ayogera nti Ye mwannyinaze: nga nnina omutima omutuukirivu n'engalo ezitaliiko kabi bwe nnakola ekyo.