Genesis 20:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amuddamu mu kirooto nti: “Nange mmanyi nga wakikoze mu mutima mulungi, kyenvudde nkutaliza, oleme kwonoona gye ndi, kyenvudde sikuleka kumukwatako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'amugamba mu kirooto nti, “Weewaawo, mmanyi nga wakikola mu mutima mulungi, era nange kye nnava nkuziyiza okwonoona, ne sikuganya kumukwatako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'amugamba mu kirooto nti: “Weewaawo, mmanyi nga wakikola mu mutima omulongoofu, kyennava nkuziyiza okwonoona, ne sikuganya kumukwatako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'amugamba mu kirooto nti Weewaawo, mmanyi nga wakola ekyo ng'olina omutima omutuukirivu, era nange ne nkuziyiza okunnyonoona: kyennava nnema okukuganya okumukwatako.