Genesis 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kati muddize bba, kubanga mulanzi. Ajja kukusabira, ojja kubeera mulamu. Bw'onoogaana okumumuddiza, awo oli wa kufa, ggwe n'ebibyo byonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kaakano zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe on’oba mulamu. Naye bw’otomuzzeeyo, manya ng’ojja kufa, ggwe ne by’olina byonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga omusajja oyo nnabbi, ajja ku kusabira oleme kufa; naye bw'otomuzzeeyo, tegeera nga ojja kufa ggwe n'abantu bo bonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano zzaayo muk'omusajja. Omusajja oyo nga bw'ali mulanzi, ajja kukusabira oleme kufa. Naye bw'otoomuzzeeyo, manya nti ddala oli wa kufa, ggwe n'abantu bo bonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga ye nnabbi, naye alikusabira, naawe oliba mulamu: era bw'otoomuzzeeyo, tegeera nga tolirema kufa, ggwe, n'ababo bonna.