Genesis 20:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abimeleki n'ayita Yiburayimu n'amugamba nti: “Kiki kye watukoze? Kibi ki kye nakukola kw'osinzidde okundeetera, nze n'obwakabaka bwange bwonna, ekibi ekyenkana wano? Ky'onkoze si kye wandisaanye okunkola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abimereki n'alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti, “Nakukola ki? Kibi ki kye nnakukola ggwe, olyoke ondeetere nze n'obwakabaka bwange okwonoona kuno okunene?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abimeleki n'ayita Aburahamu n'amugamba nti: “Kiki kino ky'otukoze? Kibi ki kye nakukola, olyoke ondeetere nze n'ab'omu bwakabaka bwange, ekibi ekyenkanidde awo? Wankola ekitagwanidde kukolebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abimereki n’alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti Onkoze ki? nange nnakwonoona ntya, ggwe okundeetera nze n'obwakabaka bwange okwonoona okunene? Onkoze ebikolwa ebitagwana kukola.